Ttabamiruka ’15 Conference Proceedings

TTABAMIRUKA ’15 RESOLUTIONS

Ffe Abakiise abatudde mu Lukiiko Ttabamiruka 2015 e Washington DC mu America, Leero nga September 6, 2015 Tukkaanyizza nti:

  1. Tweyanzizza tweyanzeege eri Ssabasajja Kabaka kubanga yasiima Abataka Abakulu b’obusolya mu Buganda batukyalire mu America omwaka guno. Era twebaza ne ssekwebaza yenna, Abataka olw’okukuuma Obuganda mu myaka egy’ettayo 1966-1993.
  2. Tusanyukidde entegeka y’ekibiina Abataka Trust Limited okuwagira Ssabasajja Kabaka nga batandikawo ensawo eneweerera abavubuka Abaganda mu matendekero ag’omutindo ogwa waggulu ddala, mu America n’ensi endala n’okubabangula mu Nnono n’empisa za Baganda ennungi. Tweyamye okukaanya n’Abataka ku nkola enambulukufu mwetunayita okuwagira omulimu guno.
  3. Tukubira Katikkiro wa Buganda omulanga akulembere nga anywerera ku Nnono. Era tumusaba n’obuwombeefu akome ku bakungu abaweebuula Ennono nga bawa ebiragiro, ebyaabwe kubwaabwe ne bapipaatikako erinnya lya Ssabasajja Kabaka, n’abo abatambuza eng’ambo n’okusala ebigambo ku Baganda bannaabwe.
  4. Tumaliridde nti olukungaana lwa Baganda Ttabamiruka mu America lujja kugenda mu maaso buli mwaka emirembe n’emirembe, nga luwulize eri Kabaka ate nga lwetengerera.

We resolve that:

  1. We are very grateful to Ssabasajja Kabaka, for consenting to the plan by Abataka to travel to America this year to visit us. We greatly appreciate the efforts and foresight of Abataka which kept the spirit of Buganda Kingdom alive during the years of turmoil 1966-1993.
  2. We appreciate the initiative by Abataka Trust Limited to support Ssaabasajja Kabaka by starting a scholarship program that will enable Baganda youth to attend University of the highest standards in America and other advanced countries, plus grounding them in Buganda traditions. We shall work with Abataka Trust Limited to establish a transparent system, through which we will wholeheartedly support the initiative.
  3. We petition the Katikkiro of Buganda to administer the kingdom, strictly, according to the traditional laws and norms of Baganda. We respectfully ask that he takes action to restrain those officials who misrepresent their own administrative policies as Royal Decrees issued by the Kabaka, and those who engage in idle rumor-mongering and slander fellow Baganda.
  4. We pledge to continue to hold the annual Ttabamiruka conference in America forever, loyal to Kabaka but independent of other influences.
PDF

Download Resolutions

Awangaale Ssaabasajja Kabaka wa Buganda!

TTABAMIRUKA ’15 PROGRAM

Visit the Ttabamiruka ’15 Program page to see more details.

TTABAMIRUKA ’15 SPEAKERS

Visit the Ttabamiruka ’15 Speakers page for more details.

TTABAMIRUKA ’15 IMAGES

Visit the Ttabamiruka ’15 History page for more details.